1 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Azaliya mutabani wa ssekabaka Amaziya n’alya obwakabaka bwa Yuda* Ebyo byabaawo mu mwaka 767 bc.. 2 Yalina emyaka kkumi na mukaaga bwe yatandika okufuga, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Yekoliya ow’e Yerusaalemi. 3 Yakola ebyali ebirungi mu maaso ga
5 Awo
6 Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Azaliya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 7 Awo Azaliya n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
8 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyezi mukaaga. 9 N’akola ebibi mu maaso ga
10 Awo Sallumu mutabani wa Yabesi, n’asala olukwe n’amuttira mu lujjudde lw’abantu, era n’alya obwakabaka. 11 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 12 Awo ekigambo
13 Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n’atandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era n’afugira omwezi gumu mu Samaliya. 14 Menakemu mutabani wa Gaadi n’ava e Tiruza n’agenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era n’amutta. Ye n’afuuka kabaka mu kifo kye. 15 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Sallumu, n’olukwe lwe yasala, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri. 16 Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.
17 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, era n’afugira emyaka kkumi mu Samaliya. 18 Yakola ebibi mu maaso ga
19 Awo Puli§ Puli lye linnya lya kabaka w’e Bwasuli era lye yayitibwanga mu Babulooni. Ate era yayitibwanga Tigulasupireseri III; yafugira wakati wa 745 ne 727 bc (Laba 1By 5:26) kabaka w’e Bwasuli n’alumba Isirayiri, naye Menakemu n’amusuubiza okumuwa ttani amakumi asatu mu nnya eza ffeeza ng’amusaba okumuwanirira n’okumunyweza ku ntebe ey’obwakabaka. 20 Menakemu n’asoloozanga ensimbi ku Bayisirayiri, buli musajja omugagga ng’awaayo gulaamu desimoolo mukaaga eza ffeeza, okuwa kabaka w’e Bwasuli. Awo kabaka w’e Bwasuli n’abaviira mu nsi yaabwe.
21 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Menakemu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 22 Menakemu n’afa, Pekakiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
23 Mu mwaka ogw’amakumi ataano ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka ebiri. 24 Yakola ebibi mu maaso ga
26 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Pekakiya, ne bye yakola byonna, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
27 Mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi abiri. 28 Yakola ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
29 Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli. 30 Awo Koseya mutabani wa Era n’asala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, n’amulumba era n’amutta, n’alya obwakabaka mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya.
31 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Peka, ne bye yakola byonna byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
32 Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Yosamu mutabani wa Uzziya n’alya obwakabaka bwa Yuda. 33 Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Yerusa muwala wa Zadooki. 34 N’akola ebirungi mu maaso ga
36 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 37 Mu biro ebyo
-
a Ebyo byabaawo mu mwaka 767 bc.
b Mu 2By 26:16-21, Katonda yaleeta ku kabaka ebigenge kubanga y’ewa omulimu ogwa bakabona (laba Lv 13:46)
c Yosamu yafugira mu kiseera ekyo kyennyini Azaliya ng’akyali mulamu.
d Puli lye linnya lya kabaka w’e Bwasuli era lye yayitibwanga mu Babulooni. Ate era yayitibwanga Tigulasupireseri III; yafugira wakati wa 745 ne 727 bc (Laba 1By 5:26)