8 Awo ku lunaku olw’omusanvu mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obwakabaka bwa Nebukadduneeza, kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye lya kabaka ery’oku ntikko, ate nga mwami wa kabaka w’e Babulooni n’ajja mu Yerusaalemi. 9 N’ayokya yeekaalu ya
13 Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez’ebikomo n’ebyuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, n’ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu yeekaalu ya
16 Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, ne mu nnyanja, ne mu byuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, Sulemaani bye yakolera yeekaalu ya
18 Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala nga basibe: Seraya kabona Asinga obukulu, n’omumyuka we Zeffaniya, n’abaggazi abasatu. 19 Era yatwala n’omukungu eyaduumiranga abasajja abalwanyi, n’abakungu abalala bataano abatuulanga ku lukiiko lwa kabaka; era n’atwala n’omuwandiisi omukulu eyavunaanyizibwanga okuyingizanga abantu mu magye mu nsi ya Yuda, n’abasajja abannansi nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 20 Abo bonna Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’abatwalira kabaka w’e Babulooni e Libula. 21 Kabaka w’e Babulooni n’abattira eyo e Libula, mu nsi y’e Kamasi.
22 Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alonda Gedaliya mutabani wa Akikamu, muzzukulu wa Safani okuba omukulembeze w’abo abaali basigaddewo mu Yuda. 23 Awo abakungu ab’eggye n’abasajja abalala bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya okuba omukulembeze, ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abasajja abakungu abo baali Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani mutabani wa Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, ne Yaazaniya mutabani w’Omumaakasi. 24 Gedaliya n’abalayirira bo n’abasajja baabwe n’abagamba nti, “Temutya bakungu Bakaludaaya, naye mutereere mu nsi muweereze kabaka w’e Babulooni kale ebintu byonna binaabagendera bulungi.”
25 Naye mu mwezi ogw’omusanvu, Isimayiri mutabani wa Nesaniya, muzzukulu wa Erisaama ow’olulyo olulangira n’ajja n’abasajja kkumi, n’alumba Gedaliya era n’amutta, awamu n’Abayudaaya; n’Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa nabo n’abatta. 26 Awo abantu bonna okuviira ddala ku wawansi okutuukira ddala ku w’eddaala erya waggulu, n’abamaggye abakulu bonna, ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.
27 Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda nga yakamala emyaka amakumi asatu mu musanvu mu buwaŋŋanguse mu busibe, nga Evirumerodaki kyajje afuuke kabaka w’e Babulooni, Evirumerodaki n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda okuva mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 28 N’ayogera naye ebigambo ebyekisa, n’amuwa n’ekitiibwa ekya waggulu okusinga ne bakabaka abalala abaali awamu naye mu buwaŋŋanguse mu busibe e Babulooni. 29 Awo Yekoyakini n’aggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera n’aliiranga wamu ne kabaka w’e Babulooni ku mmeeza ya kabaka ennaku zonna ez’obulamu bwe. 30 Kabaka n’awanga Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku ennaku zonna ez’obulamu bwe.