1
4 Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako kiruyi kyonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe. 5 Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira n’embazzi, naye ng’abadde agiwuuba ateme omuti, embazzi n’ewanguka mu kiti kyayo, n’etema munne n’afa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n’atattibwa.
6 Ebibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bw’anaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ng’amukutte, aleme kusobola kumukwata, naye n’amutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne. 7 Kyenva nkulagira okweyawulirangako ebibuga bisatu. 8
11 Naye omuntu bw’anaabanga n’ekiruyi ku munne, n’amwekwekerera n’amutta, n’alyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo, 12 abakulembeze abakulu ab’omu kibuga ky’omutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga ery’omusaayi gw’omufu, omutemu n’alyoka attibwa. 13 Tomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi n’emirembe.
14 Tosimbulanga bituuti ebiri mu mpenda eziraga ensalo ya buli muntu ne muliraanwa we, ebyasimbibwawo ab’omu mirembe egyasooka, ebiraga ettaka ly’onoogabana mu nsi
15 Omujulizi omu taamalenga, okusinzisa omuntu omusango gw’anaabanga azzizza, oba olw’ekikolwa ekibi ky’anaabanga akoze nga kyekuusa ku musango gw’anaabanga azzizza. Wanaamalanga kubeerawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, olwo nno ekivunaanwa omuntu oyo ne kiryoka kinywezebwa. 16 Omujulizi ow’obulimba bw’aneesowolangayo n’avunaana omuntu nti musobya, 17 abantu bombi abawozaŋŋanya banajjanga mu maaso ga
-
a ebibuga bisatu Bino byali bibuga bisatu ebirala eby’okuddukirangamu, nga biri mu bugwanjuba bwa Yoludaani.