1 Awo ne mpulira ng’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Muleete abakuumi b’ekibuga wano, buli omu n’ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.” 2 Ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku luuyi olw’omulyango ogw’engulu, ogutunudde mu bukiikakkono, buli omu ng’akutte ekissi mu ngalo ze; nga ku bo kuliko omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g’ekyoto eky’ekikomo.
3 Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu.
5 Abalala n’abagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa. 6 Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.
7 N’abagamba nti, “Eyeekaalu mugyonoone, mujjuze empya abattibwa, mugende!” Ne bafuluma ne bagenda nga batta mu kibuga kyonna. 8 Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi
9 N’anziramu nti, “Ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri ne Yuda kisusse nnyo; ensi ejjudde okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde obutali bwenkanya. Boogera nti, ‘
11 Awo omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu n’akomyawo obubaka eri