1 Noolwekyo ng’ekisuubizo eky’okuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. 2 Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. 3 Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti,
6 Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ng’abo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olw’obujeemu. 7 Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti,
12 Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. 13 Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.
14 Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. 15 Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna. 16 Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.
<- Abaebbulaniya 3Abaebbulaniya 5 ->