1 Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. 2 Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. 3 Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo.”
4 Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti,
8 Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?”
9 Yesu n’abaddamu nti,
11 Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti,
12 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.” 13 Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.
14 Awo n’alyoka abategeereza ddala nti,
16 Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo[a] n’agamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.”
17 Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 18 Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu. 19 Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe. 20 Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde. 21 Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. 22 Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”
23 Yesu n’agamba Maliza nti,
24 Maliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.”
25 Yesu n’amugamba nti,
27 Maliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”
28 Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” 29 Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu. 30 Yesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga. 31 Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.
32 Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”
33 Yesu bwe yamulaba ng’akaaba era n’Abayudaaya abaali naye nga bakaaba n’anyolwa mu mutima, n’ajjula obuyinike. 34 N’abuuza nti,
35 Yesu n’akaaba amaziga.
36 Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ng’abadde amwagala nnyo!”
37 Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?”
38 Awo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. N’atuuka ku ntaana. Yali mpuku ng’eggaliddwawo n’ejjinja. 39 Yesu n’agamba nti,
40 Yesu n’amuddamu nti,
41 Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti,
43 Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
45 Bangi ku Bayudaaya abajja ne Maliyamu bwe baalaba Yesu ky’akoze ne bamukkiriza. 46 Naye abalala ne bagenda eri Abafalisaayo ne babategeeza Yesu kye yakola.
47 Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi. 48 Bwe tumuleka bw’atyo, abantu bonna bajja kumukkiriza bamugoberere, n’ekirivaamu Abaruumi bagenda kujja bazikirize ekifo ekitukuvu n’eggwanga lyaffe.”
49 Awo omu ku bo, Kayaafa eyali Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo, n’abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi. 50 Temulaba nti kirungi omuntu omu afe, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”
51 Ekyo Kayaafa teyakyogera ku bubwe, wabula ye nga Kabona Asinga Obukulu, yayogera eby’obunnabbi nti Yesu yali anaatera okufiirira eggwanga, 52 ate si ggwanga lyokka naye n’okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana. 53 Okuva ku lunaku olwo abakulembeze b’Abayudaaya ne basala amagezi okutta Yesu.
54 Noolwekyo, Yesu n’alekayo okutambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n’avaayo n’alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu, n’abeera eyo n’abayigirizwa be.
55 Embaga y’Abayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogw’okwetukuza ng’embaga tennatuuka. 56 Bwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?” 57 Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali balagidde nti, Omuntu yenna bw’amanya Yesu wali abategeeze, balyoke bamukwate.
<- Yokaana 10Yokaana 12 ->-
a Didumo okutegeeza nti mulongo