1 Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo
2 Yoswa n’asindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, n’abakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi.
3 Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga ab’omu Ayi si bangi.” 4 Abayisirayiri ng’enkumi ssatu ne boolekera Ayi, kyokka abasajja be Ayi ne babafubutula emisinde 5 okubaggya ku wankaaki w’ekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ng’amakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka.
6 Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya
10
13 “Golokoka otukuze abantu era obategeeze beetukuze nga beetegekera olw’enkya bw’atyo bw’ayogera
14 “ ‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika
16 Yoswa yakeera nnyo n’akuŋŋaanya ebika byonna, yasookera ku kika kya Yuda era n’asembeza enju ya Yuda: 17 n’alondamu abo abazaalibwa Zeera, ate mu nju ya Zeera n’alondamu Zabudi n’ennyumba ye: 18 ate mu bo n’alondamu Akani omwana wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda.
19 Yoswa n’agamba Akani nti, “Mwana wange njagala oweese
20 Akani n’addamu nti, “Mazima nayonoona eri
22 Yoswa n’atuma ababaka mu weema ya Akani era ne babisangayo ng’abisimidde mu ttaka. 23 Ne babifulumya ne babireeta eri Yoswa n’Abayisirayiri bonna, ne babissa mu maaso ga
24 Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli. 25 Yoswa n’abuuza Akani nti, “Lwaki watuleetera ensasagge eno? Nga bwe wakola bw’otyo olwa leero naawe onookiraba
-
a Sinaali Mu Lwebbulaniya, Sinaali kyekimu ne Babulooni.