1 Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti, 2
3 Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, 4 nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte. 5 Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.
6 Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya, 7 ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi,[a] n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.
8 Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo! 9 Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”
10 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti,
14 Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu. 15 N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16 Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.
17 Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?”
18 Yesu n’abaddamu nti,
20 Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde 21 ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti,
22 Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”
23 Yesu n’addamu nti,
25 Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti,
26 Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti,
27 Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti,
30 Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
31 Awo Yesu n’abagamba nti,
34 Yesu n’amugamba nti,
36 Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti,
39 N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti,
40 N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti,
42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti,
43 N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo. 44 N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.
45 Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti,
47 Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya. 48 Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata. 49 Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.
50 Yesu kwe kumugamba nti.
51 Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.
52 Naye Yesu n’amulagira nti,
55 Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti,
57 Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde. 58 Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo. 59 Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa. 60 Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri 61 abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ”
62 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?” 63 Naye Yesu n’asirika busirisi.
64 Yesu n’addamu nti,
67 Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, 68 nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”
69 Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”
70 Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”
71 Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”
72 Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”
73 Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”
74 Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.
75 Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti,