Luusi
1 Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu. 2 Erinnya ly’omusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, n’amannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi[a] ab’e Besirekemu mu Yuda, bwe baatuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera omwo.
3 Naye Erimereki bba wa Nawomi n’afa; nnamwandu Nawomi n’asigalawo ne batabani be bombi. 4 Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.
5 Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa, Nawomi n’asigala nga talina baana wadde bba.
6 Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti
8 Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, “Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina[b], era
14 Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.
15 Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.” 16 Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. 17 Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika.
19 Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
20 Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde. 21 Nagenda nnina ebintu bingi, naye
22 Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri[d] nga kyakatandika.
Luusi 2 ->-
a Erinnya Bayefulaasi liva mu nju Erimereki mw’asibuka. Erimereki yabbula erinnya Efulaasi okuva mu nnyumba ye mu kifo gye yali abeera, okumpi n’e Besirekemu (4:11; Lub 35:19; 1Sa 17:12; Mi 5:2)
b Abawala ne bannamwandu baabeeranga ne bannyaabwe (Lub 24:28, 67). Kitaawe wa Luusi yali akyali mulamu (2:11).
c Ekyo kyogera ku mpisa y’Ekiyudaaya egamba nti nnamwandu atalina mwana ateekwa kufumbirwa muganda w’omugenzi bba (Lub 38:6-8; Ma 25:5-10)
d Sayiri ye yasookanga okukungulwa. Eŋŋaano yakungulwanga wayiseewo wiiki nnyigiko (laba 2:23)